Isaiah 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne mpulira eddoboozi ly'Omukama ng'agamba nti: “Ntume ani? Ani anaatugenderayo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, ng'agamba nti, “Naatuma ani, Ani anaagenda ku lwaffe?” Nze ne nziramu nti, “Nze, nzuuno: tuma nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpulira eddoboozi lya Afugabyonna ng'agamba nti: “Nnaatuma ani? Ani anaaba omubaka waffe?” Nze ne ŋŋamba nti: “Nze, nzuuno, tuma nze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugendera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze.