Isaiah 60:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Situka, yakaayakana, kubanga ekitangaala kyo kizze, n'ekitiibwa ky'Omukama kisitukidde ku ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Golokoka, oyake, kubanga omusana gwo guzze, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Yerusaalemu, situka oyakaayakane ng'enjuba; kubanga ekitangaala kyo kituuse n'ekitiibwa kya Mukama kyakaayakanira ku ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.