Isaiah 60:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abagwira, balizimba bbugwe wo, bakabaka baabwe balikuweereza; okukukuba nakukubisa busungu, naye kati olw'okukwagala nkusaasidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo, era bakabaka baabwe bakuweereze; Olw’obusungu bwange, nakukuba, naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bannamawanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nnakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba Yerusaalemu nti: “Ab'amawanga amalala balizimba ebigo byo ne bakabaka baabwe balikuweereza. Nakubonereza nga nkwatiddwa obusungu, naye kaakano nkuddiddemu nga nkwatiddwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.