Isaiah 60:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiryango gyo bulijjo ginaabanga miggule, tegiggalwenga emisana n'ekiro, abantu basobole okukuleetera obugagga bw'ensi nga bakabaka baabwe baleetebwa mu nnyiriri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo, emisana n’ekiro tegiggalwenga, abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era enzigi zo zinaabanga nzigule bulijjo: emisana n'ekiro teziggalwengawo, abantu bakuleeterenga obugagga bw'amawanga gaabwe, nga bakabaka baabwe be bakulembeddemu ennyiriri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'enzigi zo ziaaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.