Isaiah 60:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga eggwanga n'obwakabaka ebitalikuweereza birizikirira, birisaanirawo ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga eggwanga n'obwakabaka ebirigaana okukuweereza, biriggyibwawo. Weewaawo amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.