Isaiah 60:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaakutulugunya balijja ne bakufukaamirira; ne bonna abaakugayanga balivunnama ku bigere byo, balikuyita Ekibuga ky'Omukama, Siyoni w'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. Balikuyita kibuga kya Katonda, Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abaana b'abo abaakujoonyesanga balijja ne bakuvuunamira, n'abo bonna abaakujooganga balifukamira awo ku bigere byo ne bakuyita ‘Ekibuga kya Mukama, Siyooni eky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.