Isaiah 60:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliyonka amata g'amawanga, oliyonka amabeere ga bakabaka; olwo olitegeera nti nze Omukama nze Mulokozi wo, Omununuzi wo, Omuyinza wa Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olinywa amata ag’amawanga. Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga, era olimanyira ddala nti, Nze, nze Mukama, nze Mulokozi wo era Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka; era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga ne bakabaka balikulabirira nga nnyina w'omwana bw'amulabirira. Olimanya nga Nze Mukama, Omulokozi wo era Omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Owaamaanyi owa Yakobo.