Isaiah 60:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukambwe tebuliddayo kuwulirwa ku ttaka lyo, okwonoona n'okuzikiriza tebiriba mu nsi yo; bbugwe wo olimuyita Bulokofu, n'emiryango gyo, Ttendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo, wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo. Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, Era n’enzigi zo, Kutendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaloboozi ag'obukambwe tegaliddamu kuwulirwa mu nsi yo, era ensi yo teriddamu kuzika wadde okuzikirizibwa. Ebisenge byo olibiyita ‘Buwanguzi,’ n'emiryango gyo ‘Kutendereza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza.