Isaiah 60:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba yo tekyaddayo kubeera kitangaala kyo emisana, yadde ekitangaala ky'omwezi okukwakira, kubanga Omukama y'aliba ekitangaala kyo eky'olubeerera; Katonda y'alibeera ekitiibwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa; naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Toomulisibwenga njuba emisana, wadde ekitangaala ky'omwezi ekiro. Nze Mukama, Nze nnaabanga ekitangaala kyo, ekitangaala ky'ekitiibwa kyange kye kinaakwakangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa: naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.