Isaiah 60:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, newandibadde ng'enzikiza ebuutikidde ensi, nga ne kazigizigi akutte abisse abantu, Omukama alisituka ku ggwe, n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, naye ggwe Mukama alikwakirako era ekitiibwa kye kikulabikeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga; naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manya ng'ekizikiza kiribikka ku nsi, ekizikiza ekikutte kiribikka ab'amawanga; naye Mukama alivaayo ng'enjuba mu ggwe, n'ekitiibwa kye kirirabikira mu ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.