Isaiah 60:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba yo tekyaddayo kugwa, yadde omwezi gwo okukkirira, kubanga Omukama y'aliba ekitangaala kyo eky'olubeerera; n'ennaku zo ez'okukungubaga zirikoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba yo terigwa nate, n’omwezi gwo tegulibula; Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba ziweddewo. Nze Mukama, Nze ndifuuka enjuba yo etegwa, n'omwezi gwo ogutavaawo nga nkuwa ekitangaala ekitaliggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.