Isaiah 60:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abantu bo bonna balibeera batuukirivu, balitwala ensi emirembe gyonna; bo gwe mutunsi gwe nsimbye, gwe mulimu gw'omukono gwange, ndyoke ngulumizibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gw’emikono gyange, olw’okulaga ekitiibwa kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo bonna banaakolanga ebituufu n'ensi eyo eriba yaabwe emirembe gyonna. Baliba ttabi lye nasimba era omulimu Nze Nzennyini gwe nakola, ndyoke mpeebwenga ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.