Isaiah 60:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asembayo obutono alifuuka olukumi, asinga obutene alifuuka eggwanga ery'obuyinza; nze Mukama; kino nzija kwanguwa okukituukiriza mu budde bwakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi. Nze Mukama, ndikyanguya mu biseera byakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuto alifuuka lukumi (1,000) n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi; nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amaka go agasingayo obutono era agataliiko bwe gali, galifuuka ggwanga ery'amaanyi. Nze Mukama ekyo ndikyanguya okubaawo ng'ekiseera kyakyo kituuse.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuto alifuuka lukumi n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.