Isaiah 60:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Situla amaaso ogeebunguluze: bonna bakuŋŋaana, bajja gy'oli; batabani bo bava ewala, ne bawala bo baweekeddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yimusa amaaso go olabe; abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli batabani bo abava ewala ne bawala bo abasituliddwa mu mikono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimusa amaaso go omagemage olabe; bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli, batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo balisitulibwa mu mikono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yimusa amaaso go otunule eno n'eri olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu bajje gy'oli. Batabani bo baliva ewala ne bajja, ne bawala bo balisitulibwa ng'abaana abato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.