Isaiah 60:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliraba n'oyakaayakana, omutima gwo gulitujja ne gujaguza; kubanga nnamunkukumbo w'ennyanja alikuleeterwa, obugagga bw'amawanga bulijja gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza. Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliraba ekyo n'ojjula essanyu, olibuguumirira olw'okusanyuka, kubanga obugagga bw'amawanga bulireetebwa gy'oli, era bulikutuukako nga buyita ku nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira.