Isaiah 60:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamungi w'eŋŋamiya alikubuutikira, eŋŋamiya envubuka ez'e Midiyaani ne Efa. Bonna okuva e Saba balijja, nga baleeta zaabu n'obubaani, nga balangirira ettendo ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe, eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa. Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane okulangirira ettendo lya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba; balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagana g'eŋŋamiya galikujjulamu nga gava e Midiyaani n'e Efa, era galiva n'e Seeba nga galeeta zaabu n'obubaane. Abantu balirangirira amatendo ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira ez'e Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.