Isaiah 60:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagana gonna ag'e Kedari baligakuŋŋaanyiza w'oli, endiga z'e Nebayoti zirikuweereza; zirikkirizibwa ku mwaliiro gwange ne zitambirwa, nange ndigulumiza ennyumba yange ey'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa, endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza. Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza, zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga zonna ez'e Kedari n'endiga ennume ez'e Nebayooti zirikuleeterwa, n'ozikozesa ky'oyagala. Zinaaleetebwanga ku alutaari yange ne nzikkiriza. Era Essinzizo lyange ndyongera okulifuula eryekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.