Isaiah 60:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno ebizinga binnindirira, amaato g'e Tarusisi ge gakulembedde, galeeta abaana bo okuva ewala wamu ne ffeeza ne zaabu waabwe, olw'okubeera erinnya ly'Omukama Katonda wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga abagulumizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze; ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde bireete batabani bammwe okubaggya ewala awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza, olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri, kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bye byombo ebiva mu nsi ez'ewala, ebikulembeddwa ebyombo by'e Tarusiisi, nga bireeta abantu bo okuva eyo ewala. Baleese ffeeza waabwe ne zaabu waabwe, okussaamu ekitiibwa Mukama Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli, assisaamu abantu be ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.