Isaiah 61:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama Katonda gundiko, kubanga Omukama yansiiga omuzigo okuleetera abanaku amawulire amalungi; yantuma okugumya abamenyese emitima, okulangirira okuteebwa eri abasibe, okuteebwa eri abaggaliddwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n'abasibe okuggulirwawo ekkomera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna anzijuzizza Mwoyo we kubanga Mukama annonze, n'antuma okubuulira abaavu amawulire amalungi. Antumye okujjanjaba abakoseddwa mu mutima, okubuulira abawambiddwa, nti bajja kuteebwa, n'abasibiddwa nti bajja kusumululirwa ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;