Isaiah 61:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaasanyukiranga nnyo mu Mukama, omwoyo gwange gunaajagulizanga mu Katonda wange; kubanga annyambazizza ekyambalo ky'obulokofu, annyambise omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'omugole omusajja bwe yeewoomya n'omuge, n'omugole omukazi bwe yeetona n'amajjolobera ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'eby'obuyonjo bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga Yerusaalemu kigamba nti: “Nnaasanyuka nnyo olwa Mukama ne njaganya olwa Katonda wange, kubanga annyambazizza ekyambalo eky'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu. Neetikkidde engule ng'oyo awasizza omugole, era ndi ng'omugole anyumidde mu byambalo bye eby'obugole.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'ebyobuyonjo bwe.