Isaiah 61:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ettaka bwe liwa bye limezezza okututunuka, n'ennimiro n'ewa ebisigiddwamu okukula, n'Omukama Katonda bw'alitutunusa atyo obutuukirivu n'ettendo mu maaso g'amawanga gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ettaka bwe limeza ebimera, era ng'ennimiro bw'ekuza ebigisigiddwamu, bw'atyo ne Mukama Afugabyonna bw'alinunula abantu be, ne bafuna ekitiibwa mu maaso g'amawanga gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.