Isaiah 61:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okulangirira omwaka ogw'ekisa ky'Omukama__ olunaku Katonda waffe kw'aliwoolerera eggwanga__ okukubagiza bonna abakungubaga
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okulangirira omwaka gwa Mukama ogw’okulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Antumye okulangirira nti ekiseera kituuse Mukama akwatirwe abantu be ekisa, era awangule abalabe baabwe. Antumye okubudaabuda bonna abanakuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde;