Isaiah 61:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balizimba buto ebifulukwa ebya ddi na ddi, balisitula amatongo agamaze emyaka n'emyaka; balizzaawo ebibuga ebyakubibwa, n'ebyayonoonebwa ebimaze amazadde n'amazadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balizimba buggya ebibuga eby'edda ebyayonooneka, balizzaawo ebyali bifuuse amatongo. Baliddaabiriza ebibuga ebyayonoonebwa ne bimala emyaka n'emyaka nga birekeddwa awo ttayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi.