Isaiah 61:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka mmwe munaayitibwanga bakabona ba Mukama, banaaboogerangako ng'abaweereza ba Katonda waffe; munaalyanga ku bugagga bw'amawanga era muneewaaniranga mu kitiibwa kyago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama, abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe; mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe munaayitibwanga bakabona ba Mukama. Abantu banaabayitanga baweereza ba Katonda waffe. Mmwe munaakozesanga ebyobugagga bw'amawanga, mubyeyagalirengamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.