Isaiah 61:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga nze Omukama njagala mazima; nkyawa obunyazi n'okukola obubi. Ndibawa empeera yaabwe mu mazima, era ndikuba nabo endagaano ey'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze Mukama njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nze njagala bwenkanya, ne nkyawa okunyaga n'okukola ebibi. Ndiwa abantu bange empeera yaabwe mu bwenkanya, era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze Mukama njagala omusango ogw'ensonga, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo.