Isaiah 61:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lyabwe lirimanyika mu mawanga, n'abaana baabwe balimanyika mu bantu; bonna abalibalaba balimanya nti be bantu Omukama be yawa omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga n’abaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu, bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliba battutumu mu mawanga. Buli muntu abalaba alimanya nga be bantu, Nze Mukama, be mpadde omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu: bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.