Isaiah 62:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, Omukama alangiridde okutuusa ku nkingi z'ensi nti: “Mugambe Muwala wa Siyoni nti: ‘Laba, Omulokozi wo ajja! Wuuyo, empeera ye ali nayo, n'ebirabo bye bimukulembedde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Mukama alangiridde eyo yonna ensi gy’ekoma, nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta n’ebirabo bingi, n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Mukama alangiridde ku nkomerero y'ensi nti, “Mugambe omuwala wa Sayuuni nti, Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga Mukama alangirira mu nsi yonna nti: “Mugambe ab'omu Siyooni nti Omununuzi wo ajja ng'ali n'empeera n'omusaala by'aligaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.