Isaiah 62:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna, ekitiibwa kyo; oliyitibwa erinnya eriggya akamwa k'Omukama lye kalikutuuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Oliyitibwa erinnya epya akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo; awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu, amawanga galiraba bw'onunuddwa, bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Olituumibwa erinnya eriggya, Mukama yennyini ly'alikutuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.