Isaiah 62:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olibeera omuge ogw'ekitiibwa mu mukono gw'Omukama, n'engule y'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama, enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliba ng'engule ennungi ey'obwakabaka Mukama Katonda wo gy'akutte mu ngalo ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.