Isaiah 62:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Toliddayo kuyitibwa Ayabuliddwa, n'ensi yo kuyitibwa Matongo; wabula ogenda kuyitibwa Essanyu lyange mu ye, ate ensi yo, Nfumbo; kubanga Omukama alikusanyukiramu, n'ensi yo eriba efumbiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. Kubanga Mukama akusanyukira era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika; naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa; kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toliddamu gwakubiri kuyitibwa “Alekeddwawo,” n'ensi yo teriddamu kuyitibwa “Eyazika,” naye oliyitibwa “Katonda gw'asanyukira,” n'ensi yo eriyitibwa “Eyafumbirwa,” kubanga Mukama akusanyukira n'ensi yo gw'erifumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.