Isaiah 62:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ng'omuvubuka bw'awasa omuwala embeerera, n'abaana bo bwe balikuwasa; era ng'awasizza bw'asanyukira omugole, ne Katonda wo bw'alikusanyukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa; era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omuvubuka bw'awasa omuwala embeerera, ne batabani bo bwe baliwasa; era ng'omusajja awasa bw'asanyukira omugole, bw'atyo ne Katonda wo bw'alikusanyukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.