Isaiah 62:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yalayira ne ddyo we, n'omukono gwe ogw'obuyinza nti: “Siriddayo kuwa ŋŋano yo balabe bo balye, n'abagwira tebaliddayo kunywa ku vviini gye wateganira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo era n’omukono gwe ogw’amaanyi: “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo, era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti, “Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannamawanga tebalinywa mwenge gwo gw'otawaanidde,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo, alayidde obuyinza bwe nti: “Mazima siriddayo kuwaayo ŋŋaano yo kuliibwa balabe bo, n'abagwira tebalinywa mwenge gwo gwe wateganira bw'otyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu: