Isaiah 63:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono ani ajja ng'ava mu Edomu? Ava mu Bozura mu byambalo ebimyufu? Ani oyo awoomye mu byambalo bye? Ajja akaga mu bungi bw'amaanyi ge? “Ye Nze alangirira obutuukirivu, alina obuyinza okulokola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula anekaanekanye mu ngoye emyufu. Ani ono ali mu ngoye za bakabaka akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye? “Ye nze alangirira obutuukirivu, ow’amaanyi okulokola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ani ono ava mu Kibuga Bozira eky'omu nsi Edomu? Ani ono ayambadde ebyambalo ebinnyike mu ddagala, ali mu ngoye ezeekitiibwa ng'atambuza maanyi ge amangi?” 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5 “Ye Nze Mukama alina obuyinza okununula, era azze okulangirira obuwanguzi bwange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola.