Isaiah 63:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo baamujeemera, ne banakuwaza Mwoyo we omutukuvu; kyeyava abeefuulira, ne yeefuula omulabe waabwe, yennyini n'abalwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe era ye kennyini n’abalwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bajeema ne banakuwaza Omwoyo gwe omutukuvu; kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe, n'alwana nabo ye yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bo ne bajeema, ne banakuwaza Mwoyo we Omutuukirivu, kyeyava akyuka n'afuuka omulabe waabwe, ye yennyini n'abalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne bajeema ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu: kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe; n'alwana nabo ye yennyini.