Isaiah 63:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ajjukira ebiseera eby'edda: Musa n'abantu be: Ali ludda wa oyo eyabasomosa ennyanja, ng'ali n'omusumba w'eggana lye? Ali ludda wa oyo eyabassaamu Mwoyo we omutukuvu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda, ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be; aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye. Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? Ali ludda wa oyo eyateeka Omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu be ne bajjukira ebyaliwo edda, mu biseera bya Musa, ne bagamba nti: “Mukama ali ludda wa eyabasomosa ennyanja, wamu n'abakulembeze b'abantu be? Ali ludda wa oyo eyateeka Mwoyo we Omutuukirivu wakati mu bo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? ali ludda wa oyo eyateeka omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo?