Isaiah 63:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyasindika omukono gwe ogw'ekitiibwa gubeere ku ddyo wa Musa, eyatemamu amazzi mu maaso gaabwe, yeefunire erinnya ery'olubeerera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ali ludda wa eyakozesa obuyinza bwe, n'akola eby'amaanyi ng'ayita mu Musa, n'ayawulamu amazzi g'ennyanja nga balaba, okwekolera erinnya eritalyerabirwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo?