Isaiah 63:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ggwe Kitaffe! Yiburayimu tatumanyi ne Yisirayeli tatutegeera; naye ggwe, ayi Mukama, ggwe Kitaffe, erinnya lyo ggwe Mununuzi waffe okuva edda lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda n’edda lye linnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri nga tatukkiriza; ggwe, ayi Mukama, ggwe Kitaffe; Omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Ggwe Kitaffe. Aburahamu jjajjaffe ne bw'aba nga tatumanyi, ne Yisirayeli ng'atwegaana, Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Kitaffe, Omununuzi waffe, okuva ddi na ddi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga gwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri ga tatukkiriza: ggwe, ai Mukama, gwe Kitaffe; omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo.