Isaiah 63:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, lwaki watuleka ne tuwaba ku makubo go, n'otugugubya emitima ne tutakutya? Komawo olw'okubeera abaweereza bo, ebika by'obusika bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo amawanga g’omugabo gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, lwaki ggwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, lwaki otuleka okuwaba ne tuva mu kkubo ly'otulaga? Lwaki okakanyaza emitima gyaffe ne tukuvaako? Ddayo ku nkola yo ey'edda ku lw'abaweereza bo, abantu ababo ku bubwo, ab'omu bika bya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, lwaki gwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo.