Isaiah 63:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bo baamala akabanga katono nga be bannannyini Kitukuvu kyo, naye kati abalabe baffe balinnyiridde ekifo kyo ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera; abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe ab'eggwanga lyo ettukuvu, ekifo kyo ekitukuvu twakirina kaseera buseera, abalabe baffe ne bakirinnyirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera kaseera buseera: abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo.