Isaiah 63:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tufuukidde ddala ng'abantu b'otofugangako, abantu abatayitibwangako linnya lyo. Singa nno oyabizza eggulu n'okka, ensozi zandijugumidde ggwe w'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda; naye bo tobafuganga, tebayitibwanga linnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tufuuse ng'abo b'otobeerangako mufuzi waabwe, ng'abatabeerangako bantu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo.