Isaiah 63:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nsambye bw'omu mu ssogolero; era mu bantu tewabadde n'omu annyambako. Mbasambye mu busungu bwange, mbalinnyiridde mu buswandi bwange; omusaayi gwabwe ne gusammukira ebyambalo byange, ne nzirugaza engoye zange zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, tewali n’omu yajja kunnyambako. Nabalinnyiririra mu busungu era omusaayi gwabwe ne gusammukira ku ngoye zange, era guyiise ku byambalo byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsambye essogolero omu nzekka; so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange, weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange; n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu nti: “Nsambye amawanga ng'asamba essogolero obwomu nzekka, nga mu bantu tewali annyamba. Ddala nagasamba ne ngalinnyirira mu busungu bwange n'ekiruyi, omusaayi gwago ne gummansukira, engoye zange zonna ne zijjula amabala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsambye essogolero omu nzekka so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange: weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala.