Isaiah 63:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olunaku lw'okuwoolera eggwanga lumbadde mu mutima, n'omwaka ogw'okununula kwange gutuuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse, olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku olw'okuwalanirako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nasalawo nti ekiseera eky'okununula abantu bange n'okubonereza abalabe baabwe, kituuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.