Isaiah 63:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmazemaze, kyokka tebadde n'omu ayamba. Neewuunyizza okulaba nga tewali adduukirira; awo omukono gwange ne gumpa obuwanguzi, obusungu bwange ne bumpanirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba, newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako. Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, era obusungu bwange ne bunnyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira; omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi; n'ekiruyi kyange kye kyampanirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe namagamaga, neewuunya okulaba nga tewali annyamba. Naye obusungu bwange ne bumpa amaanyi, ekiruyi kyange ne kinsobozesa okuwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira: omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi n'ekiruyi kyange kye kyampanirira.