Isaiah 63:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaanyumyanga ekisa ky'Omukama, era n'ettendo ly'Omukama, olwa byonna Omukama by'atukoledde, ebirungi enkumu by'akoledde ennyumba ya Yisirayeli, ng'aggya mu kusaasira kwe ne mu bungi bw'ekisa kye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde; weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo ga Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka nnombojje eby'ekisa Mukama by'akoze. Ka ntendereze Mukama olw'ebyo byonna by'atukoledde, era olw'ekisa ekingi ky'alaze ab'ennyumba ya Yisirayeli ne by'abakoledde, olw'okusaasira kwe n'olw'ekisa kye ekijjudde okwagala okungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)