Isaiah 63:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku zaabwe zonna naye yabonaabona; malayika w'okulabika kwe n'abalokola. Yabanunula lwa kubaagala na lwa kubasaasira; yabasitula n'abakongojjanga ennaku zonna ez'edda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya. Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula; yabayimusa n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga; mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkanga ennaku zonna ez'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna, Ye yennyini, sso si malayika we, n'abawonya. Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula, n'abalabiriranga, n'abakwatirangako mu nnaku zaabwe zonna okuva edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkiranga ennaku zonna ez'edda.