Isaiah 64:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wakola eby'entiisa bye twali tutalindiridde, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku, oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi; okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire mu maaso go!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, era nga bwe gweseza amazzi. Jjangu olage abalabe bo obuyinza bwo, amawanga gakankane mu maaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo!