Isaiah 64:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ddi tewabanga awulira, n'okutu okuwulira yadde eriiso okulaba Katonda omulala okuggyako ggwe akolera abo abasuubira mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira, wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wakola eby'entiisa bye twali tutasuubira, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja wo.