Isaiah 64:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osisinkana oyo asanyukira okukola ebikolwa eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go; naye wasunguwala nga twonoonye, tuludde nga tukujeemedde, tulirokolebwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva edda n'edda, abantu tebawulirangayo era tebalabangayo wadde okutegeerayo Katonda omulala, wabula Ggwe akolera ebyamagero abo abasuubira mu Ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira.