Isaiah 64:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffenna tufuukidde ddala ng'omuntu omwonoonefu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biri ng'ekiwero ekijama. Ffenna tuwotose ng'ekikoola, n'ebibi byaffe bitufuumuula ng'empewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu, abo abajjukira amakubo go. Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, ddala tulirokolebwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go; laba, wasunguwala naffe ne twonoona; edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Osanyukira abo abasanyuka okukola by'oyagala, abo abajjukira bw'oyagala bayisenga. Ffe watusunguwalira, naye ne twongera bwongezi okukola ebibi. Twasigala mu ebyo okuva edda. Kale ebyo tulibiwona?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go: laba, wasunguwala naffe ne twonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?