Isaiah 64:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali n'omu akoowoola linnya lyo, yadde agezaako kukukwata, kubanga otukwese amaaso go, otuwaddeyo mu buyinza bw'ebibi byaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu. Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋaanga ekyambalo ekikongedde; era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffenna tufuuse abatali balongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna ebirungi, biri ng'ekyambalo ekikongedde ekko. Ffenna tuli ng'ebikoola ebiwotose, olw'ebibi byaffe, era tutwalibwa embuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo.